1 Kings 19:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Genda, kwata ekkubo lye limu eryakuleeta, olage mu ddungu ly'e Damasiko. Bw'otuukayo, siiga Kazayeli omuzigo abeere kabaka wa Aramu
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’amugamba nti, “Ddirayo mu kkubo lye wajjiddemu ogende mu ddungu lya Ddamasiko. Bw’onootuuka eyo ofuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w’e Busuuli,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'amugamba nti Ddayo mu kkubo ery'eddungu erigenda e Ddamasiko: bw'otuukangayo ofukanga amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w'e Busuuli:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amugamba nti: “Ddayo mu ddungu okumpi ne Damasiko. Bw'onootuukayo, ofuke omuzigo ku Hazayeeli afuuke kabaka wa Siriya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'amugamba nti Genda oddeyo mu kkubo lyo eri eddungu ery'e Ddamasiko: kale bw'olituuka ofukanga amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w'e Busuuli: