1 Kings 19:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Siiga ne Yewu mutabani wa Nimusi omuzigo abeere kabaka wa Yisirayeli, ate Elisa mutabani wa Safati, ali e Abeli-Mekola, musiige omuzigo abeere mulanzi, akusikire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne ku Yeeku mutabani wa Nimusi okuba kabaka wa Isirayiri, ate era ofuke n’amafuta ku Erisa mutabani wa Safati ow’e Aberumekola okudda mu kifo kyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeeku mutabani wa Nimusi omufukangako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: ne Erisa mutabani wa Safati ow'e Aberumekola omufukangako amafuta okuba nnabbi mu kifo kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ogufuke ne ku Yeehu mutabani wa Nimusi afuuke kabaka wa Yisirayeli, era ogufuke ne ku Elisa mutabani wa Saafati ow'e Abeli Mehola afuuke omulanzi mu kifo kyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Yeeku mutabani wa Nimusi omufukangako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri: ne Erisa mutabani wa Safati ow'e Aberumekola omufukangako amafuta okuba nnabbi mu kifo kyo.