1 Kings 19:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, Yewu alitta buli yenna alisumattuka ekitala kya Kazayeli, ate aliba asumattuse Yewu, Elisa alimutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Yeeku anatta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Kazayeeri, ate Erisa ye n’atta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Yeeku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka oyo anaawonanga ekitala kya Kazayeeri Yeeku anaamuttanga: n'oyo anaawonanga ekitala kya Yeeku Erisa anaamuttanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale oyo anaawona okuttibwa Hazayeeli, anattibwa Yeehu, era anaawona okuttibwa Yeehu, anattibwa Elisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka oyo anaawonanga ekitala kya Kazayeeri Yeeku anamuttanga: n'oyo anaawonanga ekitala kya Yeeku Erisa anaamuttanga.