1 Kings 19:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka mu Yisirayeli nzija kweterekeramu abantu kasanvu: amaviivi gaabo bonna abatafukaamiriranga Baali, n'ab'emimwa egitamunywegeranga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula nesigaliza akasanvu mu Isirayiri, abatavuunamiranga Baali wadde okumunywegera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ndyesigalizaawo abantu kasanvu (7,000) mu Isiraeri, bonna abatafukaamiriranga Baali, era abatamunywegerangako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ndyesigalizaawo abantu kasanvu mu Yisirayeli, bonna abatafukaamiriranga Bbaali, era abatamunywegerangako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ndyesigaliza akasanvu mu Isiraeri amaviivi gonna agatafukaamiriranga Baali na buli kamwa akatamunywegeranga.