1 Kings 19:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezebeli n'atuma omubaka ewa Eliya n'amugamba nti: “Balubaale bankole bwe batyo, ate basinze nawo, singa enkya mu budde nga buno obulamu bwo nnaaba sibufudde ng'obw'omu ku abo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yezeberi n’atumira Eriya omubaka okumugamba nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, bwe siifuule obulamu bwo okuba ng’obulamu bw’omu ku bo, essaawa nga zino enkya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yezeberi n'atumira Eriya omubaka ng'ayogera nti Bakatonda bambonereze n'obukambwe, singa enkya mu kiseera nga kino nnaaba sinakutta nga gwe bwosse abantu abo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yezebeeli n'atuma omubaka eri Eliya ng'amugamba nti: “Balubaale bambonereze n'obukambwe singa enkya, mu budde nga buno, nnaaba sinnakutta, nga ggwe bwe wasse abantu abo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yezeberi n'atumira Eriya omubaka ng'ayogera nti Bakatonda bankole bwe batyo n'okukirawo, bwe sirifuula obulamu bwo okuba ng'obulamu bw'omu ku bo enkya bwe buliba nga kampegaano.