1 Kings 19:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Elisa n'akyuka, n'agenda. N'akwata ebikoligo by'ente n'azitta, ebiti by'enkumbi n'abifumbisa ennyama, n'agiwa abantu ne balya. Awo n'asituka n'agoberera Eliya, n'amuweerezanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Erisa n’amulekako akabanga, n’addayo, n’agenda n’asala omugogo gw’ente, ennyama n’agifumbisa ebiti by’enkumbi, n’agabira abantu ne balya. Awo n’agolokoka n’agoberera Eriya era n’amuweerezanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Erisa n'asooka alekayo okugoberera Eriya, n'addira omugogo gw'ente n'azitta, n'afumba ennyama yaazo nga akozesa ebikoliggo byazo nga enku, n'agabira abantu ne balya. Awo n'asituka n'agenda n'agoberera Eriya n'amuweerezanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Elisa eby'okugoberera Eliya n'asooka abivaako, n'addayo, n'addira omugogo gw'ente, n'azitta, n'afumba ennyama yaazo ng'ebikoligo byazo by'afudde enku, n'agigabula abantu, ne balya. Ebyo bwe byaggwa, Elisa n'asituka n'agenda n'abeeranga ne Eliya, n'amuweerezanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addayo n'atamugoberera n'addira omugogo gw'ente n'azitta, n'afumba ennyama yaazo n'ebintu eby'ente, n'agabira abantu ne balya. Awo n'agolokoka n'agoberera Eriya n'amuweereza.