1 Kings 19:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'atya, n'asituka, n'adduka awonye obulamu bwe. Bwe yatuuka e Beeriseba ekya Yuda, n'aleka awo omuweereza we,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya n’atya nnyo, n’adduka okuwonya obulamu bwe. Bwe yatuuka e Beeruseba mu Yuda, n’aleka eyo omuweereza we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya bwe yawulira ekyo n'asituka n'adduka olw'obulamu bwe, n'agenda e Beeruseba ekya Yuda, n'alekayo omuddu we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya n'atya, n'asituka n'adduka okuwonya obulamu bwe. N'agenda e Beruseba eky'omu Buyudaaya. N'aleka eyo omuweereza we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yalaba ekyo n'agolokoka n'agenda olw'obulamu bwe, n'ajja e Beeruseba ekya Yuda, n'alekayo omuddu we.