1 Kings 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ye ne yeeyongerayo mu ddungu olugendo lwa lunaku lumu. Yasanga oluvunvu, n'atuula wansi waalwo, ne yeesabira okufa. N'agamba nti: “Kimmala, ayi Mukama, leka nfe, anti nange sisinga bajjajjange bulungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ye n’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’atuuka awali omwoloola, n’atuula wansi waagwo, n’asaba afe. N’ayogera nti, “Kino kimala, Mukama, kaakano twala obulamu bwange, kubanga sisinga bajjajjange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye yennyini n'atambula mu ddungu olugendo lwa lunaku lumu, n'agenda n'atuula wansi w'omwoloola: ne yeesabira okufa; n'ayogera nti Kinaamala; kaakano, ayi Mukama, nziyaako obulamu bwange; kubanga sisinga bajjajjange obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ye n'atambula mu ddungu olugendo lwa lunaku lumu, n'ajja n'atuula wansi w'omwoloola, ne yeesabira okufa. N'agamba nti: “Kimala! Kaakano, ayi Mukama, twala obulamu bwange, kubanga sirina kye ngasizza kisinga kya bajjajjange!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ye yennyini n'atambula olugendo olw'olunaku lumu mu ddungu, n'ajja n'atuula wansi w'omwoloola: ne yeesabira okufa; n'ayogera nti Kinaamala; kaakano, ai Mukama, nziyaako obulamu bwange; kubanga sisinga bajjajjange obulungi.