1 Kings 19:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akebuka, emitwetwe we nga waliwo omugaati omukalirire ku manda n'ensumbi y'amazzi; n'alya, n'anywa, n'addawo ne yeebaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agolokoka, laba ng’emitwetwe we waliwo akasumbi k’amazzi n’omugaati omwokye. N’alya n’anywa, n’addamu n’agalamira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atunula, kale, laba, omugaati ogwokeddwa ku manda nga guli emitwetwe n'akasumbi ak'amazzi. N'alya n'anywa n'agalamira nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eliya n'atunula eno n'eri n'amagamaga, n'alaba emitwetwe we omugaati ogukaliriddwa ku manda, era n'akasumbi k'amazzi. N'alya era n'anywa, n'addamu okugalamira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atunula, kale, laba, omugaati nga guli awali omutwe gwe ogwokeddwa ku manda n'akasumbi ak'amazzi. N'alya n'anywa n'agalamira nate.