1 Kings 19:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yazuukuka, n'alya, n'anywa; n'atambulira ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana ku maanyi g'emmere eyo okutuusa lwe yatuuka ku Korebu, olusozi lwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’agolokoka n’alya, n’anywa, n’afuna amaanyi, era n’atambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana n’ekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agolokoka n'alya n'anywa, n'atambula mu maanyi ag'emmere eyo ennaku ana (40) emisana n'ekiro okutuusa lweyatuuka e Kolebu olusozi lwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eliya n'agolokoka, n'alya era n'anywa, ebyokulya ne bimuwa amaanyi, n'atambula ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, n'atuuka ku Horebu, Olusozi lwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agolokoka n'alya n'anywa, n'atambula mu maanyi ag'emmere eyo ennaku amakumi ana emisana n'ekiro n'atuuka e Kolebu olusozi lwa Katonda.