1 Kings 19:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatuukayo, n'ayingira mu mpuku n'asula omwo. Ekigambo ky'Omukama ne kimujjira nti: “Eliya, okola ki wano?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatuuka eyo, n’ayingira mu mpuku, n’asula omwo. Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, “Okola ki wano, Eriya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yatuukayo n'ayingira mu mpuku n'asula omwo; awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira, n'amubuuza nti Okola ki wano, Eriya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eliya bwe yatuuka ku Lusozi Horebu, n'ayingira mu mpuku, n'asula omwo. Awo Mukama n'ayogera naye, n'amubuuza nti: “Eliya okola ki wano?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuukayo n'ayingira mu mpuku, n'asula omwo; kale, laba, ekigambo kya Mukama ne kimujjira, n'amugamba nti Okola ki wano, Eriya?