1 Kings 2:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Adoniya mutabani wa Kaggiti yajja ewa Batuseba nnyina Solomoni. Batuseba n'amubuuza nti: “Ozze lwa mirembe?” Ye n'ayanukula nti: “Lwa mirembe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Adoniya omwana wa Kaggisi, n’alaga eri Basuseba nnyina Sulemaani. Basuseba n’amubuuza nti, “Ojja mirembe?” N’addamu nti, “Weewaawo mirembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi n'ajja eri Basuseba nnyina Sulemaani. Basuseba n'amubuuza nti Ozze mirembe? N'addamu nti Mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Adoniya, nnyina nga ye Haggiti, n'ajja eri Batuseba, nnyina Solomooni. Batuseba n'amubuuza nti: “Ozze lwa mirembe?” Adoniya n'addamu nti: “Yee, lwa mirembe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Adoniya mutabani wa Kaggisi n'ajja eri Basuseba nnyina Sulemaani. N'ayogera nti Ojja mirembe? N'ayogera nti Mirembe.