1 Kings 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ko ye nti: “Naawe omanyi ng'obwakabaka bwali bwange, Yisirayeli yenna yali amaze okunsemba mbeere kabaka we; naye ebintu byajjulukuka, obwakabaka ne buddira muganda wange; bwamujjira kuva wa Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Adoniya n’amugamba nti, “Nga bw’omanyi, obwakabaka bwali bwange, era ne Isirayiri yenna baatunuulira nze nga kabaka waabwe. Naye ebintu byakyuka, era n’obwakabaka bugenze eri muganda wange, kubanga bumuweereddwa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Adoniya n'ayogera nti Omanyi ng'obwakabaka bwali bwange era n'aba Isiraeri bonna baali balindiridde nze mbulye: naye obwakabaka bukyuse ne bufuuka bwa muganda wange: kubanga bwali bubwe okuva eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Adoniya n'agamba nti: “Omanyi nga nze nali ow'okusikira obwakabaka, era abantu bonna mu Yisirayeli kye baali balindiridde. Naye muganda wange n'afuuka kabaka, kubanga Mukama bw'atyo bwe yayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Omanyi ng'obwakabaka bwali bwange, Isiraeri yenna ne bakaliriza amaaso gaabwe ku nze nze mbulye: naye obwakabaka bukyuse ne bufuuka bwa muganda wange: kubanga bwali bubwe okuva eri Mukama.