1 Kings 2:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batuseba n'ajja ewa kabaka Solomoni atuuseeyo okusaba kwa Adoniya. Kabaka n'asituka okumusisinkana, n'amuvunnamira, n'atuula ku nnamulondo ye. N'atumya entebe ya nnyina kabaka, Batuseba n'amutuula ku gwa ddyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Basuseba bwe yagenda eri Kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya, Kabaka n’agolokoka okumusisinkana, n’akutama n’oluvannyuma n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka. N’atumya entebe ey’obwakabaka endala nnyina atuuleko, n’atuula ku mukono gwa kabaka ogwa ddyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Basuseba kyeyava agenda eri kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya. Kabaka n'asituka okusisinkana nnyina, n'amuvuunamira, n'alyoka atuula mu ntebe ye. N'alagira ne baleetera nnyina entebe, ne bagissa ku mukono ggwe ogwa ddyo, nnyina naatulako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Batuseba n'agenda eri Kabaka Solomooni okwogererayo Adoniya. Kabaka n'asituka okwaniriza nnyina era n'amuvuunamira. N'atuula ku ntebe ye. N'alagira ne baleetera nnyina entebe, nnyina n'atuula ku ludda lwa kabaka olwa ddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Basuseba kyeyava agenda eri kabaka Sulemaani, okwogererayo Adoniya. Kabaka n'agolokoka okumusisinkana, n'amuvuunamira, n'atuula ku ntebe ye, n'ateesesaawo nnyina entebe; n'atuula ku mukono gwe ogwa ddyo.