1 Kings 2:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batuseba n'amugamba nti: “Nkusaba akantu kamu, katono, toŋŋaana.” Kabaka n'amugamba nti: “Nnyabo, saba, kubanga siyinza kukugaana.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Basuseba n’amugamba nti, “Nkusaba ekigambo kimu ekitono, era tokinnyima.” Kabaka n’amuddamu nti, “Kisabe, maama, nange siikikumme.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnyina n'ayogera nti Nkusaba ekigambo kimu kitono naye tokigaana. Kabaka n'amugamba nti, Mmange kisabe sikigaane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyina n'agamba nti: “Nnina akantu katono kamu ke njagala okukusaba. Tokannyima.” Kabaka n'amugamba nti: “Kansabe maama, sijja kukakumma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayogera nti Nkusaba ekigambo kimu ekitono; tonnyima. Kabaka n'amugamba nti Saba, mmange; kubanga siikumme.