1 Kings 2:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Leka Abisagi ow'e Sunemu aweebwe Adoniya muganda wo abeere mukazi we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Kkiriza Abisaagi Omusunammu afumbirwe muganda wo Adoniya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Basuseba n'agamba nti Adoniya mugandawo muwe Abisaagi Omusunammu amuwase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batuseba n'agamba nti: “Adoniya muganda wo muwe Abisaagi eyava e Sunemu abe mukazi we.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Abisaagi Omusunammu aweebwe Adoniya muganda wo okumufumbirwa.