1 Kings 2:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Solomoni n'ayanukula nnyina nti: “Lwaki Abisagi ow'e Sunemu omusabira Adoniya? Musabire nno n'obwakabaka. Anti ye mukulu wange, alina n'abawagizi: Abiyatari kabona ne Yowabu mutabani wa Zeruya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Sulemaani n’addamu nnyina nti, “Lwaki osabira Adoniya, Abisaagi Omusunammu? Musabire n’obwakabaka, ate obanga ye mukulu wange; ky’ekyo, sabira ye, ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Sulemaani n'addamu nnyina nti Lwaki osabira Adoniya okuweebwa Abisaagi Omusunammu? Musabire nno n'obwakabaka, kubanga ye mukulu wange, ate nga ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, bali ku ludda lwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Solomooni n'addamu nnyina nti: “Lwaki osabira Adoniya okuweebwa Abisaagi Omusunammu? Musabire nno n'obwakabaka, kubanga ye mukulu wange, ate nga ne Abiyataari kabona, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya, bali ku ludda lwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka Sulemaani n'addamu n'agamba nnyina nti Era kiki ekikusabya Abisaagi Omusunammu olwa Adoniya? musabire n'obwakabaka; kubanga ye muganda wange omukulu; sabira ye ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya.