1 Kings 2:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni kabaka n'alayira Omukama nti: “Omukama ankole bw'atyo, ate asinze nawo, singa Adoniya taasasule na bulamu bwe olw'ekyo ky'ayogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka Sulemaani n’alayira ng’agamba nti, “Katonda ankole bw’atyo n’okusingawo, Adoniya bw’atasasule n’obulamu bwe olw’ekyo ky’asabye!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Sulemaani n'alayira Mukama nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, oba nga ekigambo Adoniya kyayogedde tekimusse.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Solomooni n'alayira Mukama nti: “Adoniya bw'atattibwe olw'ekyo ky'asabye, Katonda ambonereze n'obukambwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Sulemaani n'alayira Mukama nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, oba nga Adoniya tayogedde kigambo ekyo kya kumussa.