1 Kings 2:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, mazima Omukama nga mulamu, oyo eyannyweza n'anteeka ku nnamulondo ya kitange Dawudi, n'anzimbira olulyo nga bwe yagamba, mazima Adoniya wa kuttibwa olwa leero.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nga Mukama bw’ali omulamu, oyo annywezezza ku ntebe ey’obwakabaka eya kitange Dawudi, era ampadde olulyo nga bwe yasuubiza, Adoniya anattibwa leero!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga Mukama bw'ali omulamu, ontuuziza ku ntebe ya Dawudi kitange, era awadde ennyumba yange obwakabaka nga bwe yasuubiza, mazima, leero, Adoniya anattibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndayira Mukama omulamu annywezezza ku ntebe y'obwakabaka bwa kitange Dawudi, n'ampa obwakabaka, nze n'ab'ennyumba yange, mazima olwaleero Adoniya anattibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno nga Mukama bw'ali omulamu, annywezezza n'antuuza ku ntebe ya Dawudi kitange, era ampadde ennyumba, nga bwe yasuubiza, mazima Adoniya anattibwa leero.