1 Kings 2:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka yagamba Abiyatari kabona nti: “Ddayo e Anatoti ku butaka bwo, kubanga wali ogwanidde kufa, naye olwa leero sijja kukutta, kubanga weetikkanga Ssanduuku y'Omukama Katonda mu maaso ga Dawudi kitange, era naawe wayita mu bizibu byonna kitange bye yasanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’agamba Abiyasaali kabona nti, “Ggwe genda e Anasosi mu byalo byo. Osaanidde okufa, naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama mu maaso ga kitange Dawudi, era n’obonyaabonyezebwa wamu naye mu bibonoobono bye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'agamba Abiyasaali kabona nti Genda e Anasosi mu byalo byo; kubanga osaanidde okuttibwa: naye siikutte kaakano, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama Katonda mu biro bya Dawudi kitange, era kubanga wabonyaabonyezebwa wamu naye mu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Solomooni n'agamba Abiyataari kabona nti: “Genda e Anatooti mu byalo byo. Osaanidde okuttibwa. Naye sijja kukutta kaakano, kubanga walabiriranga Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano bwe wali ne kitange Dawudi, era kubanga wabonyaabonyezebwa wamu naye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'agamba Abiyasaali kabona nti Genda e Anasosi mu byalo byo ggwe; kubanga osaanidde okufa: naye siikutte mu biro bino, kubanga wasitulanga essanduuko ya Mukama Katonda mu maaso ga Dawudi kitange, era kubanga wabonyaabonyezebwa mu byonna ebyabonyabonya kitange.