1 Kings 2:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Solomoni n'agoba Abiyatari ku bwakabona bw'Omukama, n'atuukiriza atyo Omukama kye yayogera ku nnyumba ya Eli mu Silo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sulemaani n’agoba Abiyasaali ku bwakabona bwa Mukama, okutuukiriza ekigambo Mukama kye yayogerera e Siiro ku nnyumba ya Eri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani n'agoba Abiyasaali ku bwa kabona bwa Mukama; atuukirize ekigambo kya Mukama, kye yayogera ku nnyumba ya Eri mu Siiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Solomooni n'agoba Abiyataari ku mulimu gw'okuweereza Mukama mu bwakabona, bw'atyo n'atuukiriza ekyo Mukama kye yagamba ku b'ennyumba ya Eli mu Siilo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'agoba Abiyasaali obutaba kabona eri Mukama; atuukirize ekigambo kya Mukama, kye yayogera ku nnyumba ya Eri mu Siiro.