1 Kings 2:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigambo bwe byatuuka ku Yowabu, anti Yowabu yali yeekubidde ku Adoniya newandibadde nga yali tawagidde Abusalomu, Yowabu n'addukira mu weema y'Omukama ne yeekwata ku mayembe g'omwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawulire bwe gaatuuka eri Yowaabu, eyali akyuse okugoberera Adoniya, newaakubadde nga teyagoberera Abusaalomu, n’addukira mu weema ya Mukama, n’akwata ku mayembe g’ekyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo ebyo ne bituuka eri Yowaabu: kubanga Yowaabu yali akyuse okugoberera Adoniya, newakubadde nga teyagoberera Abusaalomu. Yowaabu n'addukira mu Weema ya Mukama, n'akwata ku mayembe g'ekyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo amawulire ago ne gatuuka ku Yowaabu, eyali akyuse n'agoberera Adoniya, wadde nga yali teyeegasse na Abusaalomu. Yowaabu n'addukira mu Weema ya Mukama, ne yeekwata ku mayembe g'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo ebyo ne bituuka eri Yowaabu: kubanga Yowaabu yali akyuse okugoberera Adoniya, newakubadde nga teyagoberera Abusaalomu. Yowaabu n'addukira mu Weema ya Mukama, n'akwata ku mayembe g'ekyoto.