1 Kings 2:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babuulira kabaka Solomoni nti: “Yowabu addukidde mu weema y'Omukama, ali kumpi n'omwaliiro.” Solomoni n'atuma Benaaya mutabani wa Yoyada, n'amugamba nti: “Genda, omutte.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baategeeza kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu weema ya Mukama, era nti ali ku kyoto, n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada nti, “Genda omutte.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babuulira kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu Weema ya Mukama, era laba, ali ku kyoto. Awo Sulemaani n'atuma Benaya mutabani wa Yekoyaada n'amugamba nti Genda omutte.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne babuulira Kabaka Solomooni nti: “Yowaabu addukidde mu Weema ya Mukama, era wuuli ali ku alutaari.” Awo Solomooni n'atuma Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'amugamba nti: “Genda omutte.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babuulira kabaka Sulemaani nti Yowaabu addukidde mu Weema ya Mukama, era laba, ali ku kyoto. Awo Sulemaani n'atuma Benaya mutabani wa Yekoyaada ng'ayogera nti Genda omugweko.