1 Kings 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era kwatanga Omukama Katonda wo bye yakukuutira: Tambulira mu makubo ge, okwatanga amateeka ge, ebiragiro bye, ennamula ye ne by'ayigiriza, nga bwe byawandiikibwa mu Tteeka lya Musa, lw'onooba n'omukisa mu byonna by'okola ne wonna w'onoogendanga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era tambuliranga mu makubo ga Mukama Katonda wo ng’okwatanga ebiragiro bye, era okwatenga amateeka ge, n’ebiragiro bye n’ebyo by’ayagala, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke obeerenga n’omukisa mu byonna by’onookolanga na buli gy’onoogendanga yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era okwatanga Mukama Katonda wo bye yakukuutira, okutambuliranga mu makubo ge, okukwatanga amateeka ge, n'ebiragiro bye, n'ebyo bye yategeeza, nga bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Musa, olyoke olabenga omukisa mu byonna by'onookolanga, na buli gy'onoogendanga:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era okolenga ebyo Mukama, Katonda wo by'akulagira, okwatenga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye, na byonna bye yakuutira, nga bwe byawandiikibwa mu Mateeka ga Musa, olyoke obenga n'omukisa mu byonna by'okola, yonna gy'onoogendanga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era okwatanga Mukama Katonda wo bye yakukuutira, okutambuliranga mu makubo ge; okukwatanga amateeka ge, n'ebiragiro bye, n'ebyo bye yategeeza, ng'ebyo bwe biri ebyawandiiltibwa mu mateeka ga Musa, olyoke olabenga omukisa mu byonna by'okola, na buli gy'onookyukiranga: