1 Kings 2:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Benaaya n'ajja ku weema y'Omukama n'agamba Yowabu nti: “Kabaka agambye nti: ‘Fuluma.’ ” Ko ye nti: “Sijja kufuluma; nzija kufiira wano.” Benaaya n'azzaayo ekigambo ewa kabaka nti: “Bino Yowabu by'ayogedde, era bino by'anzizeemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Benaya n’agenda mu weema ya Mukama, n’agamba Yowaabu nti, “Kabaka akulagidde okufuluma.” Naye ye n’addamu nti, “Nedda, nzija kufiira wano.” Benaya n’azzaayo obubaka eri kabaka, nga Yowaabu bwe yamuddamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Benaya n'atuuka ku Weema ya Mukama, n'agamba Yowaabu nti Kabaka akulagidde nti Fuluma. Yowaabu n'addamu nti Nedda nja kufiira wano. Benaya n'addiza kabaka ebigambo Yowaabu byayogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Benaaya n'atuuka ku Weema ya Mukama, n'agamba Yowaabu nti: “Kabaka akulagidde nti: ‘Fuluma.’ ” Yowaabu n'agamba nti: “Nedda, ka nfiire wano.” Benaaya n'addiza kabaka obubaka nti: “Agambye bw'atyi ne bw'atyi. Ddala bw'atyo bw'anzizeemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Benaya n'atuuka ku Weema ya Mukama, n'amugamba nti Kabaka bw'ayogera bw'ati nti Fuluma. N'ayogera nti Nedda; naye naafiira wano. Benaya n'addiza kabaka ebigambo ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogedde Yowaabu, era bw'anzizeemu bw'atyo.