1 Kings 2:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'amugamba nti: “Kola nga bw'agambye, mutte, omuziike; onooba onzigyeeko n'ennyumba ya kitange omusango olw'omusaayi ogutaliiko musango Yowabu gwe yayiwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’alagira Benaya nti, “Kola nga bw’ayogedde, omutte era omuziike oggyewo omusango ku nze ne ku nnyumba ya kitange olw’omusaayi Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba Benaya nti Kola nga bw'agambye. Mutte, omuziike, nze n'ab'ennyumba ya kitange tuleme kuvunaanibwa lwa bantu Yowaabu be yatta nga tebalina musango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'agamba Benaaya nti: “Kola nga bw'agambye. Mutte, omuziike, nze n'ab'ennyumba ya kitange tuleme kuvunaanibwa lwa bantu Yowaabu be yatta nga tebalina musango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'amugamba nti Kola nga bw'ayogedde, omugweko omuziike; oggyewo omusaayi, Yowaabu gwe yayiwa awatali nsonga, ku nze ne ku nnyumba ya kitange.