1 Kings 2:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ajja kumuvunaana olw'okuyiwa omusaayi, kubanga yalumba n'atta abasajja babiri abalungi era abatuukirivu n'okumusinga, n'abassa ekitala nga kitange Dawudi tategedde: ye Abuneri mutabani wa Neri omuduumizi w'eggye lya Yisirayeli ne Amasa mutabani wa Yeteri omuduumizi w'eggye lya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Mukama alimusasula olw’omusaayi gwe yayiwa, kubanga yagwa ku basajja babiri n’abatta n’ekitala, Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w’eggye lya Isirayiri, ne Amasa mutabani wa Yeseri, omukulu w’eggye lya Yuda, kitange Dawudi n’atakimanya, ate nga baali bamusinga obutuukirivu n’obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama alibonereza Yowaabu olwabasajja ababiri Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Isiraeri ne Amasa mutabani wa Yeseri omukulu w'eggye lya Yuda, abamusinga obulungi n'obutuukirivu beyatta n'ekitala kitange Dawudi n'atakimanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama awoolere eggwanga ku ye, kubanga yakuba abasajja babiri, abaali abantu abalungi era abaalina ebisaanyizo okumusinga, abasajja abo, Abuneeri mutabani wa Neeri era omuduumizi w'eggye lya Yisirayeli, ne Amasa mutabani wa Yeteri era omuduumizi w'eggye lya Buyudaaya, n'abatta nga kitange Dawudi tategedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alizza omusaayi gwe ku mutwe gwe ye, kubanga yagwa ku basajja babiri abaamusinga obutuukirivu n'obulungi, n'abatta n'ekitala, kitange Dawudi n'atakimanya, Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Isiraeri, ne Amasa mutabani wa Yeseri, omukulu w'eggye lya Yuda.