1 Kings 2:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'ezzadde lye bavunaanibwenga okuyiwa omusaayi kuno emirembe gyonna; naye eddembe ly'Omukama libeere ku Dawudi, ku zzadde lye, ku nnyumba ye ne ku nnamulondo ye emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe gutyo omusango gw’omusaayi gwabwe gubeere ku mutwe gwa Yowaabu ne ku zzadde lye emirembe gyonna. Naye ku Dawudi ne ku zzadde lye, era ne ku nnyumba ye ne ku ntebe ye ey’obwakabaka, wabeerewo emirembe gya Mukama emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe gutyo omusaayi gwabwe gulidda ku mutwe gwa Yowaabu ne ku mutwe gw'ezzadde lye ennaku zonna: naye eri Dawudi n'eri ezzadde lye n'eri ennyumba ye n'eri entebe ye eribaayo emirembe ennaku zonna okuva eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuttibwa kwabwe kunaavunaanibwanga Yowaabu oyo n'ezzadde lye ennaku zonna. Naye Dawudi n'ezzadde lye, n'abasika be ku ntebe ye ey'obwakabaka, Mukama anaabawanga emirembe ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe gutyo omusaayi gwabwe gulidda ku mutwe gwa Yowaabu ne ku mutwe gw'ezzadde lye ennaku zonna: naye eri Dawudi n'eri ezzadde lye n'eri ennyumba ye n'eri entebe ye, eribaayo emirembe ennaku zonna okuva eri Mukama.