1 Kings 2:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'afuula Benaaya omuduumizi w'eggye mu kifo kya Yowabu; Zadoki kabona n'amuzza mu kifo kya Abiyatari.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’afuula Benaya mutabani wa Yekoyaada omukulu w’eggye mu kifo kya Yowaabu, n’afuula ne Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'assaawo Benaya mutabani wa Yekoyaada okuba omukulu w'eggye mu kifo kye: kabaka n'assaawo Zadoki kabona mu kifo kya Abiyasaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'assaawo Benaaya mutabani wa Yehoyaada okuba omuduumizi omukulu ow'eggye mu kifo kya Yowaabu. Kabaka era n'assaawo Zaddooki kabona mu kifo kya Abiyataari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'assaawo Benaya mutabani wa Yekoyaada okuba omukulu w'eggye mu kifo kye: kabaka n'assaawo Zadooki kabona mu kifo kya Abiyasaali.