1 Kings 2:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka yatumya Semeyi n'amugamba nti: “Weezimbire ennyumba mu Yeruzaalemu osule eyo; tovangamu kulaga walala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’atumya Simeeyi n’amugamba nti, “Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi obeere omwo, so tovangamu okugenda awantu wonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'atumya Simeeyi n'amugamba nti Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi, obeere omwo, naye tovangayo kugenda walala wonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'atumya Simeeyi, n'amugamba nti: “Weezimbire ennyumba wano mu Yerusaalemu, obeere omwo. Togezanga n'ova mu kibuga, n'obaako awalala wonna w'olaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'atuma n'ayita Simeeyi n'amugamba nti Weezimbire ennyumba mu Yerusaalemi, obeere omwo, so tovangayo okugenda yonna yonna.