1 Kings 2:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku lw'olivaamu n'osomoka Ekiwonvu Kiduroni manya nti oli wa kufa; omusaayi gwo gulibeera ku mutwe gwo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku lw’olivaayo n’osomoka ekiwonvu Kiduloni, tegeerera ddala nga tolirema kufa, era omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tegeerera ddala nga ku lunaku lw'olivaayo n'osomoka akagga Kidulooni, lw'olittibwa: n'omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kimanye awatali kubuusabuusa nti k'olivaayo n'osomoka Akagga Kidurooni, tolirema kuttibwa, era ggwe oliba weereetedde wekka okufa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ku lunaku kw'oliviirayo n'osomoka akagga Kiduloni, tegeerera ddala nga tolirema kufa: omusaayi gwo guliba ku mutwe gwo ggwe.