1 Kings 2:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Semeyi n'agamba kabaka nti: “Oyogedde bulungi, mukama wange kabaka; nga bw'oyogedde n'omuweereza wo bw'atyo bw'anaakola.” Semeyi n'abeera mu Yeruzaalemu ennaku nnyingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Simeeyi n’addamu Kabaka nti, “Ky’oyogedde kirungi. Omuddu wo ajja kukola nga mukama wange kabaka bw’ayogedde.” Awo Simeeyi n’amala ekiseera kiwanvu mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Simeeyi n'agamba kabaka nti Ekigambo ekyo kirungi: nga mukama wange kabaka bw'ayogedde, bw'atyo omuddu wo bw'alikola. Simeeyi n'abeera mu Yerusaalemi okumala ebbanga ddene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Simeeyi n'agamba kabaka nti: “Ky'ogambye kirungi, ayi Ssaabasajja. Nga bw'ogambye, nange omuweereza wo bwe nnaakola.” Bw'atyo Simeeyi n'abeera mu Yerusaalemu ebbanga ggwanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Simeeyi n'agamba kabaka nti Ekigambo ekyo kirungi: nga mukama wange kabaka bw'ayogedde, bw'atyo omuddu wo bw'alikola. Simeeyi n'amala ennaku nnyingi mu Yerusaalemi.