1 Kings 2:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olumu, nga waayiseewo emyaka esatu, abaddu ba Semeyi babiri baamuddukako ne bajja ewa Akisi, mutabani wa Maaka, kabaka w'e Gati. Ne babuulira Semeyi nti: “Abaddu bo bali mu Gati.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe waayitawo emyaka esatu, babiri ku baddu ba Simeeyi ne baddukira eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w’e Gaasi. Simeeyi n’ategeezebwa nti, “Abaddu bo bali Gaasi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lwe myaka esatu, abaddu ba Simeeyi babiri ne batoloka ne bagenda eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w'e Gaasi. Ne babuulira Simeeyi nti Abaddu bo bali Gaasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe waayitawo emyaka esatu, babiri ku baddu be ne batoloka, ne bagenda eri Akisi mutabani wa Maaka, kabaka w'e Gaati. Abantu ne babuulira Simeeyi nti: “Abaddu bo babalabye, bali Gaati.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka emyaka esatu bwe gyaggwaako, abaddu ababiri aba Simeeyi ne badduka ne bajja eri Akisi mutabani wa Maaka kabaka w'e Gaasi. Ne babuulira Simeeyi nti Laba, abaddu bo bali e Gaasi.