1 Kings 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alyoke akakase bye yansuubiza nti: ‘Abaana bo bwe balyekuuma ne baba beesigwa gye ndi n'omutima gwabwe gwonna n'omwoyo gwabwe gwonna, tojja kubulwa musajja ku nnamulondo ya Yisirayeli.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama anyweze ekisuubizo kye gye ndi nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu kkubo lyabwe, era bwe banaatambuliranga mu maaso gange mu mazima n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna, tewalibaawo muntu ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri atali wa mu zzadde lyo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anyweze ekigambo kye kye yayogera ku nze nti Abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu maaso gange mu mazima n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna, tewaabulenga musajja ava mu nnyumba yo afuga Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama alyoke atuukirize kye yansuubiza, bwe yagamba nti tewaabulengawo wa zzadde lyange afuga Yisirayeli, kasita ab'ezzadde lyange baneegenderezanga bye yalagira, ne babikwata n'omutima gwabwe gwonna, n'omwoyo gwabwe gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anyweze ekigambo kye kye yayogera ku nze nti Abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu maaso gange mu mazima n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna, tewaakubulenga (bw'atyo bwe yayogera) omusajja ku ntebe ya Isiraeri.