1 Kings 2:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Semeyi n'asitukiramu, n'atandiika endogoyi ye, n'agenda e Gati ewa Akisi okunoonya abaddu be. Semeyi n'agenda n'akomyawo abaddu be okuva e Gati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Simeeyi olwawulira ebyo, ne yeebagala endogoyi ye n’agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be. Simeeyi n’agenda okuleeta abaddu be okuva e Gaasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Simeeyi n'asituka n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be: bweyatuukayo n'abaggyayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Simeeyi n'asituka, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agenda e Gaati ewa Akisi okunoonya abaddu be. Bwe yatuukayo, n'abaggyayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Simeeyi n'agolokoka n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agenda e Gaasi eri Akisi okunoonya abaddu be: Simeeyi n'agenda n'akima abaddu be e Gaasi.