1 Kings 2:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kabaka n'amutumya, n'amugamba nti: “Saakulayiza Omukama ne nkulabula nti: ‘Olunaku lw'olifuluma n'olaga awalala, omanyanga nti oli wa kufa?’ Wannyanukula nti: ‘Oyogedde bulungi, nzija kuwulira?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kabaka n’amutumya, n’amubuuza nti, “Saakulayiza Mukama ne nkulabula nti, ‘Tegeerera ddala nga olunaku lw’olivaawo okugenda awantu wonna, olifa?’ N’oŋŋamba nti, ‘Kye njogedde kirungi era nzija kukigondera.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'atumya Simeeyi n'amugamba nti Saakulayiza Mukama ne nkukuutira nti ku lunaku lw'oliva e Yerusaalemi n'otambula okugenda e Yerusaleemi, Tolirema kufa? n'oddamu nti Ekigambo kye mpulidde kirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'atumya Simeeyi, n'amugamba nti: “Saakulayiza Mukama, ne nkulumiriza nga ŋŋamba nti k'oliva e Yerusaalemu n'obaako awalala wonna w'olaga, kimanye awatali kubuusabuusa nga tolirema kufa? Tewakkiriza, n'oŋŋamba nti ky'owulidde kirungi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'atuma n'ayita Simeeyi n'amugamba nti Saakulayiza Mukama ne nkutegeereza ddala nga njogera nti Tegeerera ddala nga ku lunaku kw'oliviirayo n'otambula okugenda yonna yonna, tolirema kufa? n'oŋŋamba nti Ekigambo kye mpulidde kirungi.