1 Kings 2:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Semeyi nti: “Naawe omanyi mu mutima gwo buli kibi kye wakola kitange Dawudi; Omukama akubonereze olw'obwonoonefu bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’agamba Simeeyi nti, “Omanyi mu mutima gwo obubi bwonna bwe wakola Dawudi kitange. Kaakano Mukama alikusasula olw’obubi bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kabaka n'agamba Simeeyi nti Omanyi obubi bwonna bwe wakola Dawudi kitange, omutima gwo bwe gutegeera: Mukama kyanaava akubonereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'ayongera okugamba Simeeyi nti: “Omanyi bulungi ebisobyo byonna bye wakola kitange Dawudi, Mukama kyanaava akubonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabaka n'agamba Simeeyi nti Omanyi obubi bwonna omutima gwo bwe gutegeera, bwe wakola Dawudi kitange: Mukama kyaliva azza obubi bwo ku mutwe gwo ggwe.