1 Kings 2:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka n'alagira Benaaya mutabani wa Yoyada; ye n'afuluma n'amukuba, n'amutta. Obwakabaka ne bunywera mu mikono gya Solomoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada, okutta Simeeyi. Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada; n'agenda n'atta Simeeyi. Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'alagira Benaaya mutabani wa Yehoyaada, n'afuluma n'akuba Simeeyi, n'amutta. Olwo Solomooni n'anywerera ddala ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'alagira Benaya mutabani wa Yekoyaada; n'afuluma n'amugwako n'okufa n'afa. Obwakabaka ne bunywezebwa mu mukono gwa Sulemaani.