1 Kings 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukole ggwe mu magezi go ky'olaba, naye tolekanga mutwe gwe ogujjudde envi kukkirira magombe mu ddembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale muyise ng’okutegeera kwo bwe kuli, so tomuganyanga kukka emagombe mirembe mu bukadde bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omanyi eky'okumukolera, toganyanga omutwe gwe oguliko envi okugenda emagombe mu mirembe; omuttanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eky'okukola okimanyi. Tomulekanga kwefiira mirembe mu bukadde bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mukole ng'amagezi go bwe gali, so toganyanga mutwe gwe oguliko envi kukka emagombe mirembe.