1 Kings 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye batabani ba Baruzillayi Abagileyaadi obagiriranga ekisa; babe mu abo abaliira ku mmeeza yo, kubanga lwe nali nziruka Abusalomu muganda wo banziruukirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi obakoleranga ebyekisa, era babenga ku abo abanaatuulanga ku mmeeza yo, kubanga baali wamu nange bwe nadduka Abusaalomu muganda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye okolanga bulungi batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi, era babenga ku abo abanaaliranga ku mmeeza yo: kubanga bankwatirwa ekisa bwe nali nziruka muganda wo Abusaalomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye oyisanga bulungi batabani ba Baruzillayi Omugileyaadi, era babenga mu abo b'onoowanga ebibayimirizaawo, kubanga bambudaabuda bwe nadduka Abusaalomu muganda wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okolanga bulungi batabani ba Baluzirayi Omugireyaadi, era babenga ku abo abanaalyanga ku mmeeza yo: kubanga bajja gye ndi bwe batyo bwe nnadduka Abusaalomu muganda wo.