1 Kings 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ewuwo olinayo ne Semeyi mutabani wa Gera, Omubenyamiini ow'e Bakurimu eyanvumirira n'ebikolimo ebikaawu ku lunaku lwe nagenda e Makanayimu. Bwe yakkirira gye nali ku Yorudani, namulayirira ew'Omukama, ne ŋŋamba nti: ‘Sijja kukutta na kitala.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era jjukira Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow’e Bakulimu ali naawe, kubanga yankolimira mu ngeri enzibu ennyo, ku lunaku lwe nagenderako e Makanayimu. Kyokka bwe yaserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mulayirira Mukama nti, ‘Sijja kukutta na kitala.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, laba, waliwo ne Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow'e Bakulimu, eyankolimira ekikolimo ekizibu ku lunaku kwe nnagendera e Makanayimu: naye bweyajja okunsisinkana ku Yoludaani ne mmulayirira mu linnya lya Mukama nga Sirimutta na kitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era waliwo Simeeyi mutabani wa Geera Omubenyamiini ow'e Bahurimu, eyanvuma obubi ennyo, ku lunaku lwe nagenda e Mahanayimu. Kyokka bwe yajja okunsisinkana ku Mugga Yorudaani, namulayirira Mukama nga mmukakasa nti: ‘Sijja kukutta’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, waliwo naawe Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow'e Bakulimu, eyankolimira ekikolimo ekizibu ku lunaku kwe nnagendera e Makanayimu: naye n'aserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mmulayirira Mukama nga njogera nti Sijja kukutta na kitala.