1 Kings 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati tomuleka nga tabonerezeddwa; ggwe oli musajja mugezi, onoolaba ky'oba omukola, naye omutwe gwe ogujjudde envi gukkirize emagombe mu musaayi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano tomubala ng’ataliiko musango. Oli musajja w’amagezi, era olimanya ekirikugwanira okumukola; tomuganyanga okukka emagombe mu mirembe mu bukadde bwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Manya nti aliko omusango, nga bwoli omusajja omugezi omanyi eky'okumukolera; toganyanga omutwe gwe oguliko envi okugenda e emagombe mu mirembe, omuttanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno tomusonyiwanga. Oli musajja mugezi, era omanyi eky'okumukolako. Tolemanga kumutta wadde akaddiye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno tomuyitanga ataliiko musango, kubanga oli musajja wa magezi; era olimanya ebikugwanira okumukola, n'omutwe gwe oguliko envi oligussa emagombe n'omusaayi.