1 Kings 20:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beni-Adadi era n'abasindika ng'agamba nti: “Balubaale bankole bwe batyo, ate basinze nawo, singa mu Samariya munaasigala enfuufu emala buli musajja wange okufunako yadde olubatu luti.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Benikadadi n’aweereza obubaka obulala eri Akabu nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, enfuufu ya Samaliya bwe teebune mu bibatu by’abasajja bonna abangoberera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Benikadadi n'amutumira ng'agamba nti Nja kuleeta basajja bange bazikirize Samaliya, bakifuule nfuufu, ereme na kubabuna buli omu okuyoolayo olubatu. Ekyo bwe siikituukirize, bakatonda bambonereze n'obukambwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Benihadadi n'amutumira ng'agamba nti: “Nja kuleeta basajja bange bazikirize Samariya, bakifuule nfuufu, ereme na kubabuna buli omu okuyoolayo olubatu. Ekyo bwe siikituukirize, balubaale bambonereze n'obukambwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Benikadadi n'amutumira n'ayogera nti Bakatonda bankole bwe batyo n'okukirawo, enfuufu ey'e Samaliya bw'eribuna abantu bonna abangoberera okuba embatu.