1 Kings 20:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka wa Yisirayeli n'ayakula n'agamba nti: “Mumugambe nti: ‘Aba yeesiba ebyokulwanyisa teyeetenda, wabula oyo aba abyambulamu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Mumugambe nti, ‘Eyeesiba ebyokulwanyisa aleme okwenyumiriza ng’oyo abyesumulula.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Mumugambe nti Eyeesiba eby'okulwanyisa bye aleme okwenyumiriza ng'oyo abyesumulula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Yisirayeli n'addamu nti: “Mumugambe nti: ‘Oyo abagalira ebyokulwanyisa okugenda mu lutalo, aleme kwenyumiriza ng'oyo abiwummuza ng'aluwangudde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Mumugambe nti Eyeesiba ebyokulwanyisa bye aleme okwenyumiriza ng'oyo abyesumulula.