1 Kings 20:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beni-Adadi bwe yawulira ekigambo ekyo - kati nno yali ne bakabaka banne mu nsiisira nga banywa - n'agamba abaweereza be nti: “Mutale.” Ne batala okulwanyisa ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Benikadadi bwe yawulira obubaka obwo, ng’ali mu kutamiira ne bakabaka abalala mu weema zaabwe, n’alagira abasajja be nti, “Mweteeketeeke okulumba.” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Benikadadi bwe yawulira ekigambo ekyo, ye ne bakabaka abamweggattako, bwe baali nga baanywera omwenge mu weema, n'alagira abaddu be nti Musimbe ennyiriri. Ne basimba ennyiriri okulwana n'ekibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obubaka obwo Benihadadi yabuwulira nga ye ne bakabaka abo abaamwegattako bali mu nsiisira zaabwe banywa omwenge. N'alagira basajja be nti: “Mweteeketeeke!” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Benikadadi bwe yawulira ekigambo ekyo, bwe yali ng'anywera, ye ne bakabaka abo, mu weema, n'agamba abaddu be nti Musimbe ennyiriri. Ne basimba ennyiriri okulwana n’ekibuga.