1 Kings 20:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulanzi omu n'ajja ewa Akabu kabaka wa Yisirayeli n'agamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Tolaba ng'eggye lino ddene? Olwa leero nzija kuliwaayo mu mikono gyo otegeere nti nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo ne wabaawo nnabbi eyajja eri Akabu kabaka wa Isirayiri n’alangirira nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olaba eggye lino eddene? Nzija kulikuwa mu mukono gwo leero, otegeere nga nze Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnabbi n'agenda eri Akabu kabaka wa Isiraeri, n'agamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olaba eggye lino lyonna eddene? Nja kuligabula mu mukono gwo olwaleero; olyoke omanye nga nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo ne wabaawo omulanzi eyajja eri Ahabu kabaka wa Yisirayeli, n'agamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Olabye eggye eryo lyonna eddene? Nja kuliwaayo mu mikono gyo olwaleero, olyoke omanye nga Nze Mukama.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, nnabbi n'asemberera Akabu kabaka wa Isiraeri, n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olabye ekibiina kino kyonna ekinene? laba, naakigabula mu mukono gwo leero; naawe onoomanya nga nze Mukama.