1 Kings 20:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akabu n'abuuza nti: “Ani anannyamba?” Omulanzi n'amugamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Oneeyamba abavubuka abakuumi b'amasaza.’ ” Era n'abuuza nti: “Ani anaatanula olutalo?” N'amuddamu nti: “Ggwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akabu n’abuuza nti, “Anakikola atya?” Nnabbi n’addamu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abavubuka bo ab’abaduumizi b’amasaza, bajja kukubeera.’ ” Akabu ne yeeyongera okubuuza nti, “Ani anasooka okulumba?” Nnabbi n’addamu nti, “Ggwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akabu n'abuuza nti Baani abanaalirumba? Nnabbi n'addamu nti Mukama agamba nti Abavubuka n'abamasaza. Kabaka n'abuuza nti Ani anaasooka okulumba mu lutalo? Nnabbi n'addamu nti Ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahabu n'abuuza nti: “Baani abanaalirumba?” Omulanzi n'addamu nti: “Mukama agamba nti: ‘Abavubuka, abaweereza b'abafuzi b'ebitundu.’ ” Kabaka n'abuuza nti: “Ani anaasooka okulumba mu lutalo?” Omulanzi n'addamu nti: “Ggwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akabu n'ayogera nti Eri ani? N'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Eri abalenzi ab'abakulu b'amasaza. Awo n'ayogera nti Ani anaasooka okulwana? N'addamu nti Ggwe.