1 Kings 20:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akunga abavubuka abakuumi b'amasaza, baali ebikumi bibiri mu asatu mu babiri. N'akunga eggye lyonna ery'abantu ba Yisirayeli; baawera kasanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akabu n’ayita abavubuka ab’abaduumizi b’amasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri (232). Era n’akuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu (7,000).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ayita abavubuka n'abamasaza bibiri mu asatu mu babiri (232), n'oluvannyuma n'ayita mu be ggye lya Isiraeri bonna ne bawera kasanvu (7,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Ahabu n'abala mu bavubuka abaweereza b'abafuzi b'ebitundu, okumanya b'alinawo, ne baba ebikumi bibiri mu asatu mu babiri. N'oluvannyuma n'abala mu b'eggye lya Yisirayeli bonna, nga bawera kasanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayolesa abalenzi ab'abakulu b'amasaza, ne baba ebikumi bibiri mu asatu mu babiri: awo oluvannyuma lwabwe n'ayolesa abantu bonna, abaana ba Isiraeri bonna, ke kasanvu.