1 Kings 20:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne beesowolayo mu ttuntu; Beni-Adadi yali ali mu kunywa mu nsiisira ne bakabaka banne ab'omukago amakumi asatu mu babiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batabaala mu ttuntu nga Benikadadi ne bakabaka amakumi asatu mu ababiri be yali alagaanye nabo bali mu kutamiira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne balumba mu ttuntu, nga Benikadadi ne bakabaka asatu mu ababiri (32) abajja okumuyamba mu lutalo, bali mu nsiisira banywa, batamiira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne balumba mu ttuntu, nga Benihadadi ne bakabaka amakumi asatu mu ababiri abajja okumuyamba mu lutalo, bali mu nsiisira banywa, beggweera!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne batabaala mu ttuntu. Naye Benikadadi yali ng'ali mu weema ng'anywa omwenge ng'atamiira, ye ne bakabaka, bakabaka amakumi asatu mu babiri abaamubeera.