1 Kings 20:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abavubuka abakuumi b'amasaza ne bakulemberamu. Beni-Adadi yali asudde enkessi, ne bamubuulira nti: “Abasajja balumbye okuva mu Samariya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza be baasooka okulumba. Naye Benikadadi yali atumye ababaka okuketta, ne bamutegeeza nti, “Waliwo abasajja abajja nga bava Samaliya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abavubuka n'abamasaza be baasooka okulumba. Benikadadi n'atuma abakessi, ne bamubuulira nti Waliwo abasajja abavudde mu Samaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abavubuka, abaweereza b'abafuzi b'ebitundu, ne basooka okulumba. Benihadadi n'atuma abakessi, ne bamubuulira nti waliwo abasajja abavudde mu Samariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abalenzi ab'abakulu b'amasaza be baasooka okutabaala; Benikadadi n'atuma, ne bamubuulira nti Waliwo abasaja abafulumye mu Samaliya.